ENDAGAANO YA UMEME: Gavumenti terina nsimbi zaakugiliyirira
Gavaumenti eyolekedde akattu k’okwongera okufiirizibwa ensimbi singa enaku z’omwezi 31 zituuka nga tenaba kufuna ssente za kusasula ekitongole ky’ebyamasanyalaze ki Umeme, kyeyasalawo okuyimirizza emirimu gyaakyo mu ggwanga.Mu kaseera kano gavumenti erina okuliyirira UMEME olw'ensimbi zebadde yakasiga mu kitongole kino ,kyoka nga omuwendo omutuufu nakati tegunamanyika.Bino bibadde mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’obugagga obw'ensibo n’obutonde bwensi.