ENKUBA ETONNYA ENSANGI ZINO: Ab’enteebereza y’obudde batangaazizza, balabudde abalimi
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byenteebereza y’obudde kisabye abalimi okulima emmera ekula amangu mu kiseera kino nga waliwo enkuba etandise okutonnya mu bitundu ebirinaanye enyanja nalubale ne musonzi ze Kabale. Wabula mu ngeri yemu ekitongole kirabudde abantu abasula mu nsozi okuva mu bitundu bino olwa kibuyaga omungi azze n'enkuba eno.