Enkumi n’enkumi zeetabye mu mmisa y’okusiibula Paapa Francis
Kalidinaali Giovani Batisita Re asabye bakkiriza okutambulira mu mukululo gw'omutukuvu Paapa Francis gwatenderezza ennyo olw'obuweereza obugatta abantu era obufaayo ennyo eri abantu abawansi. Re bino abyogeredde mu misa y'okuziika Paapa eyindidde mu kibangirizi kya St. Peters Square e Vatican. Missa eno yetabiddwako namungi w'omuntu okubadde n'abakulembeze b'amawanga agenjawulo. Sipiika wa Palamenti Anita Among n'omumyuka we Thomas Tayebwa be bamu ku bakiikiridde Uganda mu kuziika kuno.