Ensonga za Eron Kiiza zijulidde mpaka wiiki ejja
Kkooti esookerwako eya Buganda road leero tewulidde musango gwa bakyala bannakisinde ki PFF abana (4) abaakwatibwa nga balangibwa kwekalakaasa nga bawakanya okukwatibwa , nokukaligibwa kwa Dr. Col. Kiiza Besigye ate nga mulwadde .kino kiddiridde bano okugaanibwa okujjira mu ngoye eziriko obubaka obusaba okuteebwa kwa Besigye, kyoka nabo ne bakalamabira nga bagamba tebalina ngoye ndala - kati omulamuzi alagidde bakomewo nga 10 omwezi oguujja.Mungeri y’emu n’omulamuzi wa Kooti enkulu ataddewo olwa bbalaza ya ssabiiti eggya nga olunaku kwagenda okusalirawo oba kinaasoboka okuyimbula munnamateeka Eron Kiiza eyakaligibwa kooti y’amaggye ng’emulanga kugiyisaamu lugaayu.Leero bannaateeka be bawadde ensonga lwaki baagala ayimbulwe.