Eron Kiiza awera obutatta ku bigere mu nteekateeka ze ez’okulwanirira eddembe ly’obuntu
Munnamateeka Eron Kiiza eyakayimbulwa okuva mu kkomera ku misango gy’okuyisa olugaayu mu kkooti awera nti tagenda kutta ku bigere mu nteekateeka ze ez’okulwanirira yye ky’ayita eddembe ly’obuntu, n’obwenkanya. Kiiza agamba nti yayita mu nnaku gyatalabanga mu bbanga lyeyamala e kitalya, kyokka byonna byeyayitamu bimuyambye kwongera kukaluba mutima.