Ettaka okuyiibwa kasasiro: Aba KCCA, ab’e Mpigi n’e NFA balambudde ku lye Buyala
Ekitongole ki NEMA kiwadde KCCA amagezi obutageza kuyiwa kasasiro mu kibangirizi kyebabade bafunye e Buyala mu disitulikiti ye Mpigi kubanga kizuuse nga ekitundu ku kkyo kya lutobazazi.
KCCA ebadde yafunye yiika 200 mu kitundu kino ekisangibwa mu Gombolola ye Muduuma, kyoka abakulira NEMA bagamba nti kijja kuba kikyamu okutandika okukikozesa.
kati bano bakwataganye n’e kitongole ekikola ku by’ebibira, kko n’ekyobutonde bw’ensi okugira nga bafuna ekifo ekirara we bayinza okugira nga bayiwa kasasiro ono.