Eyasobezebwako ow’ekinnansi: abazadde be beekubidde enduulu
Waliwo abazadde ku kyalo Ssanga mu gombolola y’e Gombe e Wakiso abalumiriza omusawo w’ekinnansi okukuba omwana waabwe akakumbi ku mutwe, oluvanyuma n’amusobyako. Bino byaliwo nga 16 omwezi oguwedde ,kyoka bagamba nti okuva olwo omwana waabwe yasannyalala oluvanyuma lw’okusangibwamu akasaayi akeetukuse mu misuwa egigenda ku bwongo. Poliisi etubulidde nti yakakwata abantu babiri okuli n’omusawo ono ow’ekinansi alumirizibwa okukola ekivve kino bagiyambeko mu kunoonyereza kw’eriko.