Eyayiira mukazi we acid e Mayuge asindikiddwa mu nkomyo, emyaka 35
Charles Basoga, omusajja eyayiira mukazi we Acid e Mayuga mu mwaka gwa 2019 n’adduka oluvannyuma n’akwatiibwa, akitegedde nti wakwebaka mu nkomyo emyaka 35 ng’ekibonerezo olw’ekikolobero kye yakola. Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako Daniel Epobu Kiboko yategezeezza nti kino yakikoze bube ng’obubaka eri buli atekaateka okukola ekikolwa kino nti naye bw’ati bw’ajja okubonerezebwa. Rebecca Babirye eyayokyebwa Acid, yatubuulidde nti era wakiri obwenkanya aludde ddaaki n’afubuna.