FLORENCE NASSAAZI: Emboozi ya NTV emuyambye okuzuula aba famire ye
Gyebuvuddeko, twakulaga mu mawulire gaffe omukyala Florence Nasaazi eyali anoonya Kitaawe, Edward Ssemagonja, eyamubulako mu myaka gyekyenda, nga Nasaazi akyali bbuje. Ono yali amaze emyaka 32 ng’anoonya, wabula wiiki bbiri eziyise ekika kyazuuka oluvanyuma lw'emboozi gyetwakola era yayaaniriziddwa mu kika ky’ente.