Gav’t etandise okuteekawo leediyo ezaayo ennongooseemu
Gavumenti erangiridde enteekateeka z’okuleeta leediyo z’ebitundu oba community Radios okudda mu kifo ky’ebizindaalo ebyakazibwaako erya Mukalakaasa abantu bye babadde beeyambisa okubunyisa amawulire g’ekitundu, ebyawereddwa ekitongole ekivunanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ki Uganda Communications Commission oba UCC. Akulira UCC, George William Nyombi Thembo agmaba nti enteekateeka eno egenda kutandikira mu Disitulikiti y’e Kiboga nga UCC egenda kuteeka tekinologiya omupya ku leediyo zino ng’omu ku kaweefube w’okukenzeeza ku birekaana mu bitundu ebitali bimu kko n’okumalawo amawulire ag’obulimba agagambibwa nti gabadde gasasanyizibwa bimukalakaasa bino.