Geraldine Ssali asuze mu kaduukulu ka poliisi
Geraldine Ssali nga ye mutesiitesi wa ministry y'ebyobusuubuzi, akitegedde lwaleero nti siwaakudda waka era ekiro wakukimala mu kaduukulu.Ono yakwatiiddwa ab'ebyokwerinda ku by'ekuusa ku kukozesa obubi wofiisi era mbagirawo n'atwaliibwa mu kkooti evunaana abalyake.Omusango gw'asanzeeyo gwa kuvuluga-vuluga nsimbi z'okuliyirira ebibiina by'obwegassi olw'okufiirizibwa mu lutalo olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza nga ssente zino zaalina okugabibwa nga ziyita mu SACCO z’abaakosebwa wabula nezibulira mu kkubo.