Geraldine Ssali kooti emusomedde emisango egimuvunaanibwa
Ateekerateekera minisitule y’ebyobusuubuzi Geraldine Ssali asindikiddwa ku alimanda e Luzira oluvannyuma lwa kkooti okumuggulako emisango egyekuusa ku kukozesa obubi woofiisi, okufiiriza gavumenti ensmbi n’okwekobaana n’abantu abalala omuli n’ababaka okuwuwuttanya ensimbi z’omuwi w’omusolo . Ono era asindikiddwa mu kkooti enkulu gyaba awozesebwa oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okukyusa mu mpaaba n’erwongerako omusango gw’okukukusa ensimbi .