GWE BAASALAKO OBUSAJJA: Eddwaliro limusiibudde; mukazi we akwatiddwa
Omusajja Moses Kawubanya gwe twakulaga wiiki ssatu eziyise ng'apookyeza mu ddwaliro oluvannyuma lwa mukazi w’e okumusalako obusajja amaze nasiibuulwa.Kawubanya okudda ku kyalo Busana mu ggombolola y’e Nabwigulu mu district y’e Kamuli ayaniriziddwa mu mizira abantu abakungaanye okumukulisaayo.Poliisi nayo etubuulidde nga bweyakutte mukyala wa Kawubanya.