Janet Museveni ayagala ensomesa empya mu siniya mu matendekero g’abasomesa
Minisita akola ku byenjigiriza Janet Kataha Museveni alagidde abakola ku by’okutendeka abasomesa ku mitendera egy’enjawulo okutandika okubatendekara mu nsomesa empya kyongere okunyweza eby’enjigiriza. Ono agamba nti kumutendera uganda kwetuuse tekyali kusomesa baana bukugu bwa kunoonya mirimu, wabula okugyetandikirawo,kale nga n’abasomesa balina okutendekebwa mu buufu obwo. Atubuulidde nti amatendekero gonna ku mitendera egy’enjawulo,gabuliddwa okukyusa nga obudde bukyali. Bino abyogedde afulumya ebyavudde mu bibuuzo by’abayizi abaatudde eby’akamaliririzo ku mutenedera ggwa siniya ey’omukaaga.