SHEIKH SHABAN MUBAJJE:Waliwo abaagala abaamulayizza okwetonda
Abasiraamu bongedde okuvaayo okuwakanya obukulembeze bwa Sheikh Shaban Ramathn Mubajje, mweyalondeddwa ku kisanja ekipya ku bwa Mufuti wa Uganda.Mubajje yalondeddwa nga wakayita olunaku lumu, nga abamuwakanya bamukubye mu mbuga z'amateeka nebasaba kkooti okuyimiriza entekaateka zino.Akabinja k'abasiramu kano kagamba nti Mubajje takyagwana kubakulembera kubanga yakoonye emyaka 70 ssemaateka waabwe gy'akomyako omuntu yenna okutuula mu kifo kino.Bano baweze nti ono ku luno entebe tajja kugikkaliramu.