Joan Raycoboth owa S4 naye ali ku ttiimu y’eggwanga ey'okubaka
Nga ttiimu y’eggwanga y’okubaka yeetegekera empaka za Netball Nations Cup ezigenda okugyibwako akawuuwo ku ntandikwa y’omwezi ogujja mu Nottingham e Bungereza, musaayimuto Joan Raycoboth nga muyizi mũ ssiniya ey’okuna ku somero lya St Mary’s e Kitende y’omu ku bazannyi abaayitibwa mu kutendekebwa. Roycoboth ng’azannya makkati mumalirivu okuvuganya n’abazannyi abamusinga ku myaka okufuna ekifo ku ttiimu eneesitula okugenda e Bungereza.