Kiikino ekibira ekyazzibwawo olw’obubaka bwa Paapa Francis ku butonde
Ebbaluwa ya Paapa Francis “Laudato Si” gye yawandiika mu mwaka gwa 2015 ku butonde bw’ensi ekoze kinene nnyo mu kuzzaawo ekibira ky’e Nandere mu sazza ly’e Kasana Luwero ekyali kisanyeewo. Ebbaluwa eno yakoma ku mitima gy’abasaseredooti basatu n’ebatandika kaweefube w’okutaasa obutonde n’okusomesa abantu engeri gy’abayinza okubukuumamu. Abali mu kawefube w’okutaasa ekibira kino bagamba nti okufa kwa Paapa kubongedde amaanyi okwongera okutaasa obutonde nga bweyalagira mu bbaluwa ye.