Kkooti enkulu mu Kampala egaanye okukkiriza Dr. Kizza Besigye ne munne Obeid Lutale okweyimirirwa
Kkooti enkulu mu Kampala egaanye okukkiriza Dr. Kizza Besigye ne munne Obeid Lutale okweyimirirwa nga bwebaali basabye - bawoze nga bava bweru wa kkomera ku misango gy’okugezaako okulya mu nsi olukwe. Mu nsala ye omulamuzi Rosette Comfort Kania agambye nti omusango oguvunaanwa bano gwamaanyi nnyo, kale nga okuwoza nga bava bweru wa kkomera kiyinza okutataaganya okunoonyereza okugenda mu maaso, newankubadde babade batuukiriza buli kisanyizo ekyetaagisa okubakkiriza okweyimirirwa. Bannamateeka b’abawawaabirwa balaze enyiika olwensala eno.