Kkooti esookerwako e Nakawa esindise Maama ku alimanda e Luzira ku musango gw’okutta mutabani we
Kkooti esookerwako e Nakawa esindise Maama ku alimanda e Luzira ku musango gw’okutta mutabani we ow’emyaka ebiri. Maama ono nga ye Jolin Kanoheri Rugari ow’emyaka 40 avunaanibwa wamu n’omukozi we Robinah Nabbanja ku by’okutta omwana Nganwa Rugari wakati wa nga lumu n’ebbiri omwezi guno Ababiri bano kkooti tebakkirizza kwewozaako kubanga omusango gwabwe gwa nnaggomola