Kkooti etaddeko Isaac Ssemakadde ekibaluwa ekirala
Olwaleero omulamuzi wa kkooti y’eddaala erisooka eya Buganda Road, Ronald Kayizzi ayisizza ekibaluwa ekiragira okukwatibwa kwa munnamateeka Issac Ssemakadde ajje yenyonoyoleko ku misango gy’okuwebuula ssabawaabi wa gavumenti Jane Francis Abodo.Omulamuzi okusalawo bwati kiddiridde ssemakadde okumala ebbanga nga yeebalama kkooti eno okubaako by’annyonyola.Kinajjukirwa nti bino webijjidde nga omulamuzi wa kkooti enkulu Musa Ssekaana yasindika dda Ssemakadde mu kkomera ku kibonerezo kya myaka ebiri nga naye amulanga kumuvvoola.