Kyagulanyi ayogedde ku ngeri aba NUP gye bagenda okusunsulwa ku kya Kawempe North
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi agamba bakweyambisa enkola y’okukubaganya ebirowoozo mu bannakibiina bonna abeegwanyiza ekifo kyomubaka wa Kawempe North okulondako gwe bagenda okukwasa bendera kakalu. Abantu mwenda okuli ne bakkansala mu lukiiko lwa KCCA bebaakesowolayo nga beegwanyiza ekifo kino. Enteekateeka z’okulonda mu kitundu kino zaakulangirirwa akakiiko k’ebyokulonda wiiki ejja.