Latib Muwonge waakudda mu nsiike nga 26 omwezi guno
Omuzannyi w’ebikonde Latib Muwonge waakudda mu nsiike nga 26 omwezi gùno ng’attunka nè munnansi wa Tanzania Karim Migea mu lulwana lwa laawundi 10 mu buzito bwa kkiro 63 -Light super weight olugenda okuggulawo omwaka guno ku Hamz Stadium e Nakivubo. Muwonge ayagala kukozesa lulwana luno okwetegekera ennwana z’asuubira okwetabamu ebweru w’eggwanga.