LIIGI Y’OMUPIIRA GW’ABAKYALA aba Kawempe Muslim beesunga kukomawo n’amaanyi
Oluzannya olusooka olwa liigi y’eggwanga ey’abakyala abazannya omupiira gw’ebigere, FUFA Women Super League lw’akomekerezebbwa sabiiti ewedde nga ttiimu ya Kampala Queens ekuba Kawempe Muslim Ladies ggoolo 4-1. Kati aba Kawempe abalina ekikopo kino bagamba nti baakugenda mu katale basobole okukomawo n’amaanyi mu luzannya olw’okubiri oluysuubirwa okutandika mu February w’omwaka ogujja.