Maama wa Yasin Ssekitoleko amanyiddwa ennyo ‘Machete’ alajaanye
Aisha Kabanda, maama wa Yasin Ssekitoleko amanyiddwa ennyo nga Machete, alaze obutali bumativu olwa mutabani we okukaligibwa emyaaka 4 mu nkomyo nga tewali musango gwonna gwaali gumugguddwako. Ono atubuulidde nga bweyafunye akasimu okuva mu kkomera e Luzira nga bamutegeeza nti mutabani we naye yazize emmere mungeri y’okwekandagga ensonga ze zisobole okuwulirwa.Kino na kati Aisha Kabanda ono kimweraliikirizza kubanga tamanyi kiki kinaddirira ku bulamu bwa mutabani we.