Mbambu akubye ku matu, abantu be baagala buyambi okumufunira emikono emikolerere
Esther Mbambu omukyala bba gwe yatemako emikono ku kyalo Nyakasojo mu munisipaali ye Kasese omwezi oguwedde, akubye ku matu.Ono yasiibuddwa okuva mu ddwaliro ekkulu e Mbarara gyabadde ajjanjabirwa wabula nga abafamire ye bagamba nti beetaaga ssente eziwera okwongera okumufunira obujjanjabi obwetaagisa mpozi n'emikono emikolerere.Mbambu alowooza nti ennyumba gye yali atandise okuzimba mu nsimbi enneewole ye yaavaako embeteza .