Mukalazi agobeddwa mu woofiisi, bamulanze kubulankanya nsimbi n’ebintu by’ekitongole ky’abaana
Wabaddewo okulwanagana ku kizinga Bussi,bakanyama nga bagoba Ssentebe w’e kizinga kino mu wofiisi z’ekitongole ki Hope for the Island Child ky’abadde akwanaganya nga bannyikyo bamuvunaana okubulankanya ebintu n’ensimbi ezibadde ziwerezebwa okuva mu bazungu abakivujjirira.Kitegerekese nga Ssentebe Charles Mukalazi kooti bweyamulagira dda okwamuka wofiisi z’ekitongole kino neyeerema.