Museveni aguddewo oluguudo lwa flyover mu Kampala
Pulezidenti Yoweri Museveni alagidde ekitongole kya kampala ki Kampala Capital City Authority okukwatagana ne Poliisi okulaba nga balwanyisa omuzze gw’okusuula kasasiro buli wamu mu kibuga.Museveni ategezeezza nti kasasiro ono abantu gwe basuula nga bwe balabye buli wamu yaviirako okuzibikira kw’emyaala ekireetera amataba mu kampala.Museveni olwaleero aguddewo mu butongole omutendera ogusooka ogwa Kampala Flyover.