Museveni asiimye omuzaana Sarah Kakungulu olw’emirimu gye, aziikiddwa leero
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atenderezza emirimu egikoleddwa omuzaana Sarah Kakungulu ng'ono abadde maama w'omulangira Kasim Nakibinge kakungulu Jjajja w'obusiraamu mu ggwanga. Obubaka buno Museveni abutisse Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja. Bino Bibadde kukasozi e Kibuli gye bamusaalidde nga n'oluvannyuma n'atwalibwa e Namasumbi gyaziikiddwa .