Muwanga Kivumbi atandikira ku kunyweza nkolagana ya Buganda ne NUP
Amyuka omukulembeze w’ekibiina ki National unity Platform mu Buganda Muhammad Muwanga Kivumbi agamba nti olusozi kati olumnwolekedde kwe kukunga babaka banne 55 abava mu Buganda okubeera omumuli ogugenda okwagazisa bannayuganda okwegatta ku mugendo gw’enkyukakyuka mu ggwanga lyonna. Kivumbi agamba nti ezimu ku nsonga zaatagenda kubuusa maaso ky’ekibba ttaka mu Buganda , kko n’okunyweza enkolagana ya Buganda n’ekibiina.