MUWANGA KIVUMBI: Kyagulanyi amulonze ku bumyuka bwa pulezidenti waayo mu Buganda
Kyadaaki akulira ekibiina ki National unity Platform Robert Kyagulanyi alonze omubaka Muhammad Muwanga Kivumbi nga amyuka akulira ekibiina kino mu Buganda , ng’adda mu bigere bya Mathais Mpuuga eyawummuzibwa gye buvuddeko. Kyagulanyo ono amukalaatidde okufuba okulaba ng’abeera muweereza wa bantu sosi mukulembeze ng’ababadewo bwe bazze bakola.Twogedeko ne Mpuuga, amudidde mu bigere namwagaliza buwanguzi mu buvunanyizibwa obuggya bw’afunye mu kibiina.