Mwerabidde abeewayo ku lwammwe - Bobi Wine alangidde aba NUP
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu munyikaavu eri bannabyabufuzi abatakyafaayo ku bawagizi b’ekibiina abangi abaasibwa, abalala ne battibwa wakati mu kubanoonyeza akalulu mu mwaka gwa 2021. Kyagulanyi agamba nti bangi ku bakulembeze tebakyafaayo na kuyamba bang’anda zaabo abaafiirwa baabwe, kyokka nga ku kulafuubana kwabwe kwe baayitira okutuuka mu bifo mwebeyagalira. Bino abyogeredde Lutikko ya Our lady of Sorrows e Kitovu mu kusabira omugenzi Frank Ssenteza eyali omukuumi wa Kyagulanyi kyoka natomerwa mmotoka e Busega mu mwaka 2021.