Nabbanja asabye ab’e Kakumiro okunywerera ku Museveni ne NRM
Ssaabaminisita wa Uganda Robinnah Nabbanja ne bannabyabufuzi abalala okubadde ne baminisita bakunze okunywerera ku kibiina ki NRM ne ssentebe waakyo Yoweri Musevveni nga bagamba nti bingi ebituukiddwako wansi w'obukulembeze bwe .Baabadde ku mukolo gw'okukuza olunaku lwabakyala olwa disitulikiti eno.