Nnamba za digito: okuziteeka ku mmotoka zonna kutandise leero mu butongole
Okuteeka nnamba za digito ku mmotoka empya eziyingira eggwanga kutandise olwaleero mu butongole ku mukolo oguyindidde ku nsalo ya Uganda ne Kenya e Malaba. Okusinziira ku mwogezi wa minisitule Y’ebyentambula, Susan Kataike, Ensalo eno n’eye Mutukula mpozi n’ebibanda by’emmotoka ebiwera mwenda okwetoloola eggwanga bye bigenda okukozesebwa mu nteekateeka eno. Bannyini Mmotoka empya ezinaawandiisibwanga baakusasula emitwalo nsanvu mu gumu mu enkumi nnya so ng’abo abalina mmotoka eziriko ennamba enkadde baakusasula emitwalo kkumi netaano okufuna ennamba ya digito. Omuntu okufuna nnamba ya Digito era alina okuba nendagamuntu y’eggwanga.