NRM erangiridde enteekateeka y’okuzza bujja enkalala
Ssaabawandiisi wa NRM Richard Todwong ngali wamu ne bammemba ba CEC ab'ekibiina kino leero batongozza enteekateeka y’okutimba enkalala z'abannakibiina zebaagala zizzibwe buggya nga beetegekera okulonda munda mu kibiina n'okweggwanga. Enteekateeka y'okuzza enkalala zino obujja kwakutandika nga ku lwokuna lwa wiiki ejja kukomekkerezebwe olwomukaaga. Bannakibiina abalowooza nti baakwesimbawo ku bwannamunigina okuvuganya abo ekibiina be kinaaba kikwasizza bender, nabo balabuddwa.