OGW’OKUTTA KATANGA: Abawaabi baagala emisango gy’ongerwe ku bawawaabirwa
Kkooti enkulu mu Kampala ekya lwesalawo eggoye ku kusaba okukoleddwa oludda oluwaabi nga lwagala wabeewo emisango emirala egiteekebwa ku bantu bana ku abo abataano abavunaanibwa ku kuffa n’okubuzaawo obujjulizi mu musango gw’omusuubuzi Henry Katanga .Kino kiddiridde bannamatteeka b’oludda oluwawaabirwa okusimbira ekkuli okusaba okukoleddwa ssaabawaabi wa Gavumenti. Ye Molly Katanga nga w’amyaka 55 avunaanibwa okutta bba Henry Katanga leero alabiseeko mu kkooti enkulu ku misango gino era nagyegaana.