Ogwa Dr. kzza Besigye gugobeddwa lwa butaba na mulamwa
Omulamuzi wa kkooti enkulu Douglas Singiza agobye okusaba bwa ba puliida ba Dr. Kiiza Besigye, mwe baali baagalira akake gavumenti okumuleeta oba nga mufu oba mulamu.Singiza asinzidde ku kyakuba nti Besigye ono newankubadde kkooti ensukkulumu yamwejjeereza ng'eggyawo kkooti y'amagye, ate ssaabawaabi wa gavumenti yaddamu n'amuggulako emisango gy'egimu mu kkooti eri mu mateeka.Wiiki ewedde, twakitegeera nti omusango gwa Besigye gwetiikibbwa okuva mu kkooti y'amagye fayilo neweerezebwa ewa ssaabawaabi wa gavumenti.