OKUGAYAALIRIRA KALUSU MU KAMPALA: Abakugu balabudde ku kabi akoolekedde eggwanga lyonna
Abasawo b’ebisolo abakugu balabudde nti singa gavumenti egayaalirira eby’okuteekesa kalantiini ku bisolo mu Kampala obulwadde bwa kalusu ne busaasaana okutuuka mu bitundu by’e Entebbe, kiyinza okukosa okubuuka kw’ennyonyi ezijja mu Uganda ssaako n’eziva mu Uganda okugenda mu mawanga amalala agataliimu kirwadde kino. Kino kijja kukosa eby’enfuna by’eggwanga kubanga amawanga agaagoba ekirwadde kino tegandiyagadde kuddamu kulaba nga kizzeeyo. Kyokka ekitongole kya KCCA tekinnavaayo na nkola nnambulukufu ku ngeri gye kigenda okuteekesamu kalantini mu kola.