OKUKOLA ENGUUDO Z'E WAKISO: Bbanka y’ensi yonna eyolekedde okuziggyako obuvujjirizi
Abakulembeze mu district y'e Wakiso batubuulidde nti entekakateeka z’okuzimba engudo okuli oluva e Ssentema okutuuka e kikubampanga n’oluva e Kitemu okutuuka e Buddo zoolekede okuzing’ama oluvanyuma lw’abamu ku batuuze okugaana okuwaayo ettaka. Tukitegdde nti pulojekiti zino zivujjirirwa banka ya nsi yonna, kale nga abatuuze baalina kuwaayo e ttaka mu ngeri ya kyeyagalire,abamu kye bagaanye. Kitegerekese nti singa abatuuze tebakyusa mu kusalawo kwabwe enguudo zono ssi zakukolebwa.