OKUKWATA MU NGERI EY’OKUWAMBA: Bannamateeka bagamba kittatana ekitongole ekiramuzi
Eky'abamukwata mmundu nga bali mu ngoye ezaleeya okukwata abantu ababa bakkiriziddwa okweyimirwa naddala wabweru wa kkooti, kyonoona enkola y'ekitongole ekiramuzi okusinziira ku bannamatteeka abamu.Kati waliwo abagamba nti gavumenti esaana okuvaayo ekangavvule abo ababa benyigidde mu bikolwa nga bino kubanga bivumaganya enkola eyamatteeka.Ebyabaddewo ku lwokutaano lwa ssabiiti ewedde ng’omubaka wa Busiki County Paul Akamba akwatibwa biviiriddeko abakulu mu kitongole ekiramuzi okwevumba akafubo beefumiitirize ku nkola eyamateeka.