Okulagajjalira abalwadde: Waliwo eyafiirwa mukazi we e Luweero
Waliwo omwami akukulumira eddwaliro ly’e Luwero ng’agamba nti abasawo baalyo bebaviriddeko okufa kwa mukyala we mu lutalo lw’okuzaala. Daniel Nsubuga agamba nti mukyala we yafudde oluvanyuma lw’okuvaamu omusaayi omuungi ku lw’okutaano lwa sabiiti ewedde era alumirizza nti waaliwo obulagajjavu mu basawo. Kati ono asigadde ssemwandu w’abaana bataano era tamanyi butya bwagenda kulabiriramu baana bano okuli n’eyazaliddwa nga tanatuuka.