Okulonda mu NRM:Nabbanja asisinkanye aba NRM e Kakumiro okubateekateeka
Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja nga ye Mubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kakumiro asisinkanye abakulembeze ba NRM mu disitulikti eno okwongera okubalambika ku bikwata ku kamyufu ka NRM akabindabinda Ensisinkano eno era yetebiddwako amyuka ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Ssuubi ssaako Ssaabakunzi w'abakozi mu NRM Jame Tweheyo. Mu nsisinkano eno Nabbanja anokoddeyo ebintu ebyenjawulo eggwanga byerituuseeko wansi w'obukulembeze Museveni.