Okumalawo obubenje ku nnyanja; minisita Byamukama aliko ebiragiro by’ayisizza
Minisitule y’ebyentambula eriko ebiragiro byeyisizza okutangira obubenje bw'okumazzi naddala mu kiseera kino nga waliwo omuyaga ku nnyanja. Okusinziira ku biragiro bino, amaato gonna agalina yingini z'ebweru tegalina kusaabaza bantu kiro so ng'era abali mu gw'okusaabaza abantu ku mazzi balina okulaba nga bawa buli musaabaze Life Jacket. Minisita Omubeezi ow'ebyentambula Fred Byamukama atangaazizza ku biragiro bino omuli n'okuvunaana yenna asangibwa nga talina Life Jacket.