Okunyenya amatabi :Okusaba kubuutikiddwa okwebaza omutonzi olwa Kabaka
Okusaba kw’okunyenya amatabi okwolwaleero mu masinzizizo agenjawulo okwetoloola eggwanga kwesigamye nnyo ku kwebaza omutonzi olw’okukuuma ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II ng’ono olwaleero awezezza emyaka 70. Mu kusaba kuno era bannaddiini mwe basinzidde okuvumirira ebikolwa by’okutulugunya abaana ko n’okugulirira abalonzi naddala ng’eggwanga ly’olkera ekalulu ka bonna aka 2026.