OKUTAASA ENTOBAZI: NEMA esengudde amayumba e Busaabala
Ekitongole ekirera obutonde bwensi ki Nema enkya ya leero, kikoze ekikwekweto ku kyalo Kitalanga ekisangibwa mu muluka gwe Kansanga mu gombolola ye Makindye, nekimenya amaka g’abantu abagambibwa okwesenza mu lutobazi lwa Lubigi. Mubamenyeddwa, mubaddemu kalina ezimbibwa n’ekikomera ekibadde kyazimbiddwa mu mwala.