Wuuno omukyala atendeka omuzannyo gwa Cricket
Emmanuel Oroma y’omu ku Bannayuganda abatono abaafuula emizannyo omulimu. Oroma ng’aweza egy’obukulu 37 mu kiseera kino y’omu ku batendesi ba ttiimu y’eggwanga ezannya Cricket emanyiddwa nga Cricket Cranes era abayambako okubakozesa dduyiro okukuuma emibiri. Nga tannatuuka wano yali muddusi ku ttiimu y’eggwanga wamu ne ttiimu y’abakyala ezannya omuzannyo gwa rugby eya Lady Cranes.