OKUTEBENKEZA DR CONGO: omukago gwa EALA guguggumbudde abakulembeze baayo
Palamenti y’omukago gwa East evumiridde eky’eggwanga lya Democratic Republic of Congo okugoba eggye ekkuuma ddembe erya East Africa eryasindikibwayo okuzza emirembe mu bitundu ebimu olwabayeekera ba M23 abasuza abatuuze ku tebuukye.Abamu ku babaka bagamba kino kinafuya kaweefube w’okukuuma obutebenkevu mu East Africa emu ku mpagi eyamaanyi ewaniridde omukago guno.