Bannamateeka ba Eron Kiiza basitukiddemu okumutaasa
Bannamateeka beesomye obutalekerera munnaabwe Eron Kiiza oluvannyuma lw'ekibonerezo ekyamuweereddwa kkooti y'amagye olunaku lw'eggulo kye bagamba nti tebbakiriziganya nakyo. Eron Kiiza yasindikiddwa mu kkomera e Kitalya amaleyo emyezi 9 nga ssentebe wa kkooti eno amulanga kuyisa lugaayu mu kkooti ye. Bano baagala kkooti eno eveeyo ennyonnyole bulungi amateeka mwe yayise okugguka ku kibonerezo kino, nga bwekigaana bakiggyewo munnaabwe bamwesonyiwe.