Okutulugunya bannamawulire: Stephen Mbidde agamba ayagala bwenkanya
Akulira ekitongole ekirwanirira eddembe ly’amawulire ki Human Rights Network for Jurnalist Robert Ssempala agambye nti bwewatabaawo kikyuka bannamawulire abagenda okulondoola kampeyini z’akalulu ka 2026 boolekedde ekiseera ekizibu olw’obukambwe obwoleseddwa ab’ebyokwerinda mu kunoonya akalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa kawempe North.
Ssempala kino akyesigamizza ku bannamawulire abalozezza ku bukambwe buno okuli munnamrwulire wa Top TV Miracle ali mukujjanjabwa mu ddwaliro e Nsambya bweyafunye obuvune ku mutwe obwatwaliramu n’eriiso lye nga buno kigambibwa bwamutuusibwako abasirikale b’akabinja ka JAT, kuno kwogatta Steven Mbidde nga bonna ba mukutu gwa Nation Media Group. Ye Steven Mbidde amaze okulaalika nga bwagenda okukuba omuduumizi wa poliisi mu mbuga z’amateeka abitebye kulwabasajja be abaasiiwuse empisa.