OKUWAKANYA MUBAJJE: Abasiramu batutte okwemulugunya mu palamenti
Waliwo ekibinja ky'abasiramu abakedde okutambula n'ekigendererwa ekituuka ku palamenti batuseeyo okwemulugunya kwabwe, ku sheikh Shaban Ramathan Mubajje gwe balumiriza okwerayiza ku bwa Mufti mu ngeri emenya amateeka. Kyokka bano poliisi tebaganyizza kutambula nga bwe babadde bateseetese era balonzeemu abantu nga baabo beeyevugidde n'etuusa ku palamenti n'oluvannyuma nebazza gy'ebajje. Kyokka bano bakomyewo bawera nti singa palamenti eremererwa okugonjoola ensonga yaabwe, balina entekateeka endala ezisiguukulula Mubajje mu ntebe ewooma.