OKUZZA GERADINE SSALI: Waliwo ababaka abalowooza nti Museveni anyooma palamenti
Waliwo ababaka ba palamenti abatandise okufuna endowooza nti omukulembeze w’eggwanga nga yandiba nganyooma omulimu palamenti gwekola. Kino kiddiridde ebbaluwa okuva ew'Omuwandiisi w'olukiiko lw'abaminisita Lucy Nakyobe eragira ateekerateera minisitule y'ebyensimbi okuzza Geradine Ssali mu kifo kye ekyateekerateekera minisitule y’eby’obusuubuzi. Onojjukira nti Geradine Ssali yalagirwa okugira ngaddako ebbali ng'okumunoonyerezaako ku mivuyo mu nsaasaanya y’ensimbi ezaali ez'okupangisa woofiisi z'abakozi ba minisitule y’eby’obusuubuzi.